Plot 4-6 Kirumba Close. P.O Box 154 Masakainfo@masakadfa.org
Tugoberere:

August 6, 2026

Olw’okuwagira abalimi okukung’aanya amazzi, amaka mangi mu Masaka District gaafuna ttanka z’amazzi eziziikiddwa wansi ez’obunene obw’enjawulo, omuli eza liita 10,000 ne 15,000. Ttanka zino zikendeezezza ku budde n’olugendo olw’okunoonya amazzi, ziyambye okufukirira ennimiro mu biseera by’ekyeya, era zimaze okuggyako ku ssente amaka agalina ebisolo ze gaasasulanga ku mazzi. Zinywezezza n’enkolagana n’abaliraanwa abafunira amazzi awo mu biseera by’ekyeya. Nankya Christine ow’e Mukungwe Sub County agamba nti kati atereka ekitundu ku ssente ze yali asasula ku mazzi okuva MDFA lwe yamuyamba okuzimba ttanka ku nnimiro ye. Abalala abalina ttanka mulimu Akankwasa Elizabeth ow’e Buwunga Sub County.